1 Awo waaliwo omusajja ow'omu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, erinnya lye Mikka.
2 N'agamba nnyina nti Ebitundu ebya ffeeza lukumi mukikumi ebyakuggibwako, ebyakukolimya ekikolimo n'okwogera n'okyogera mu matu gange, laba, ffeeza eri nange; nze nagitwala: Nnyina n'ayogera nti Omwana wange aweebwe omukisa Mukama:
3 N'azza ebitundu biri ebya ffeeza lukumi mu kikumi eri nnyina, nnyina n'ayogera nti Mazima njawula ffeeza eno eri Mukama okuva mu mukono, gwange olw'omwana wange, okukola ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: kale kaakano naagizza eri ggwe.
4 Awo bwe yazza ebintu eri nnyina, nnyina n'atwala ebitundu ebya ffeeza ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'abikoza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kibeera mu nnyumba ya Mikka.
5 Era omusajja oyo Mikka yalina ennyumba ya bakatonda, n'atunga ekkanzu, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be, oyo n'afuuka kabona we.
6 Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.
7 Era waaliwo omuvubuka eyava mu Besirekemuyuda, ow'ekika kya Yuda, Omuleevi, n'abeera eyo.
8 Omusajja oyo n'ava mu kibuga, mu Besirekemuyuda, okubeera gy'anaayinza okulaba (ekifo): n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi eri ennyumba ya Mikka, ng'atambula:
9 Mikka n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Nze Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era ŋŋenda okubeera gye nnaayinza okulaba (ekifo).
10 Mikka n'amugamba nti Beera nange, obeere gye ndi kitange era kabona, nange naakuwanga ebiundu ebya ffeeza kkumi buli mwaka, n'ebyokwambala omuteeko gumu, n'ebyokulya. Awo Omuleevi n'ayingira.
11 Omuleevi n'akkiriza okubeera n'omusajja oyo; omulenzi oyo n'abeera gy'ali ng'omu ku batabani be.
12 Mikka: n'ayawula Omuleevi, omulenzi oyo n'afuuka kabona we, n'abeera mu nnyumba ya Mikka.
13 Mikka n'alyoka ayogera nti Kaakano mmanyi nga Mukama anankolanga bulungi, kubanga nnina Omuleevi okuba kabona wange.