1 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya kaddulubaale, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka: kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba.
2 Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge: kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo.
3 Awo kabaka n'alyoka amugamba nti Oyagala ki, kaddulubaale Eseza? era kiruwa kye weegayirira? onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka.
4 Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, kabaka ne Kamani bajje leero eri embaga gye mmufumbidde.
5 Awo kabaka n'ayogera nti Mwanguye Kamani kikolebwe nga Eseza bw'ayogedde. Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga Eseza gye yali afumbye.
6 Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Osaba ki? era kinaakukolerwa; era weegayirira ki? kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka.
7 Awo Eseza n'addamu n'ayogera nti Kye nsaba era kye nneegayirira kye kino;
8 oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima. okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje eri embaga gye ndibafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.
9 Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo: naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira so nga tamusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi.
10 Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka; n'atuma n'aleeta mikwano gye ne Zeresi mukazi we.
11 Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe benkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be.
12 Era Kamani n'ayogera nti Weewaawo, Eseza kaddulubaale teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka en embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka.
13 Naye ebyo byonna tebiriiko kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng'atuula ku mulyango gwa kabaka.
14 Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti Basimbe ekitindiro obuwanw bwakyo emikono amakumi ataano, enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo: kale olyoke oyingire ne kabaka eri embaga ng'osanyuka Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'asimbya ekitindiro.