1 Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.
2 Okugenda mu, nnYumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.
3 Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busannyusa omutima.
4 Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu.
5 Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.
6 Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu
7 Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.
8 Enkomerero y'elugambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugriza asinga alina omwoyo ogw'amalala.
9 Toyangayirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.
10 Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi.
11 Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba.
12 Kubanga amagezi kigo, nb'a ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga annagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
13 Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola?
14 Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna e.kiriba oluvannyuma lwe.
15 Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe.
16 Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza?
17 Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: Iwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka?
18 Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna.
19 Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga.
20 Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona.
21 Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira:
22 kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw'otyo wakolimira abalala.
23 Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala.
24 Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera?
25 Nakyuka, omutima gwa nge ne ngukakasa okumanyanga n'okuketmeenyanga, n'okunoonya nga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busiru siru, era ng'obusirusiru ddalu:
26 era ndaba ekigambo ekising okufa okubalagala, ye mukazi, omu tima gwe byambika n'ebitimba; n'e mikono gye giri ng'enjegese: bu asanyusa Katonda alimuwona; nayalina ebibi alikwatibwa ye.
26 emmeeme yange ky'ekyanoonya; naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga.
27 Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.
28 Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.