1 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mulayize ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku lwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi;
2 olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi.
3 Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nnyuma yaabwe ddungu eryazika so naye tewali eyali abawonye
4 Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeeba gadde embalaasi bwe baddukana bwe batyo embiro:
5 Babuuka ng bawuuma ng'amagaali bwe gawuu mira ku ntikko z'ensozi, ng'omuliri bwe guwuuma ogwokya ensambu ng'eggwanga ery'amaanyi erisimbye ennyiriri olw'olutalo.
6 Olw'okujja kwabwe abantu babalagalwa amaaso gonna gafuuse ebbala.
7 Badduka mbiro ng'abasajja ab'amaanyi; balinnya bbugwe ng'abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri.
8 So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwa nyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe.
9 Babuuka bagwa ku ki buga; bafubutukira ku bbugwe bawalampa ne batuuka mu nnyu mba; bayingirira mu madirisa ng'o mubbi.
10 Ettaka likankana mi maaso gaabwe; eggulu lijugumira enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza n'emmunyeeye zirekayo okwakkwazo:
11 era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye kubanga olusiisira lwe lunene nnyo kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaki lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola?
12 Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwa gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala:
13 era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wakisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi.
14 Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe?
15 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu:
16 mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka mabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye.
17 Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, mawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa?
18 Awo Mukama n'akwatirwa obuggya ensi ye, n'asaasira abantu be.
19 Awo Mukama n'addamu n’agamba abantu be nti Laba, ndibareereza eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, era biribakkusa:
20 so siribauula nate ekivume mu mawanga: aye ndibaggyako eggye ery'obukiika bwa kkono ne nditwala wala, ne nbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyaya .ey'ebuvanjuba, n'abasembi be au nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya we kulirinnya, kubanga akoze bikulu.
21 Totya, ggwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama koze ebikulu.
22 Temutya, mmwe ensolo ez'omu nsiko; kulanga amalundiro ag'omu ddungu aloka, kubanga omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaanyi gaagyo.
23 Kale musanyuke, mmwe abaana a Sayuuni, era mujagulize Mukana Katonda wammwe: kubanga bawa enkuba eya ttoggo mu kigera yayo ekisaana, era abatonnyeseza nkuba, enkuba eya ttoggo n'enkuba ya ddumbi, mu mwezi ogw'olubeeberye.
24 N'amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galiyiika mwenge n'amafuta.
25 Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, alusejjera n'akaacaaka n'akawuka, ggye lyange eringi lye nnagaba kubatabaala.
26 Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mu kkuta, ne nutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwati wa nsonyi ennaku zonna.
27 Era aulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda rammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi.
28 Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa:
29 era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange.
30 Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka.
31 Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omussayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja.
32 Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita.