1 Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummula kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri: eri Mukama;
2 era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne ituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu nnungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
3 Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu nnungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
4 Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro.
5 Asukulooni kiriraba kirirya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula nu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6 Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala.
7 Era ndiggyamu omusaayi mu zamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukumgu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi.
8 Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.
9 Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi.
10 Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
11 Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.
12 Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira: nti ndikuddiza emirundi ebiri.
13 Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyina abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.
14 Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo.
15 Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto.
16 Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye.
17 Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.