1 Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye.
2 Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi:
3 era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.
4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo.
5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu era abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; nnamwandu n'atalina kitaawe, en abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.
6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva muleme okumalibwawo.
7 Okuva ku nnaku za bajjajja. mmwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya?
8 Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe mu nnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako: ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.
9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna.
10 Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.
11 Era ndinenya omuli ku lwanmwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwanmwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
13 Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu eri nze, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Twakwogerako tutya?
14 Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteedde?
15 Era kaakano ab'amalala betuyita ab'omukisa: weewaawo, bo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa.
16 Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo baatya Mukama ne balowooza erinya lye.
17 Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza.
18 Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.