1 Kale mugobererenga Katonda, ng'abaana abaagalwa;
2 era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo era ssaddaaka eri Katonda okubeera evvumbe eriwunya obulungi.
3 Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu
4 newakubadde eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana: naye waakiri okwebazanga.
5 Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mu gwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6 Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.
7 Kale temussanga kimu nabo;
8 kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe: mutambulenga ng'abaana b'omusana
9 (kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima),
10 nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri;
11 so temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi;
12 kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.
13 Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa: kubanga buli ekirabisibwa gwe musana.
14 Kyava ayogera nti Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.
15 Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi;
16 nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.
17 Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.
18 So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo;
19 nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe;
20 nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo;
21 nga muwuliragananga mu kutya Kristo.
22 Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe.
23 Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini.
24 Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.
25 Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;
26 alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo,
27 alyoke agyereetere yenayini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema.
28 Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe benayini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka:
29 kubanga tewali munru eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjaajaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;
30 kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31 Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.
32 Ekyama kino kikulu: naye njogera ku Kristo n'ekkaaisa.
33 Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi atyenga bba.