1 Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa,
2 mutuukirize essanyu lyange mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu nga mulowooza bumu;
3 temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muatu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka;
4 temutunuuliranga buli muntu ebibyo yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala.
5 Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu;
6 oyo bwe yasook, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda,
7 naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu;
8 era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
9 Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;
10 buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi,
11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12 Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;
13 kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi.
14 Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka;
15 mulemenga okubaako kye munenye;ebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati n'emirembe egyakyama emikakaiyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi,
16 nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke nbeere n'okwenyumiriza ku lunaku wa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere.
17 Naye newakubadde nga nfukima ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nanmwe mwenna:
18 era nammwe me mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange.
19 Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli.
20 Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebya mmwe mu mazima.
21 Kubanga bo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo.
22 Naye ekimutegeezesa mukimanyi, nga aweerezanga wamu nange olw'enjiri, ng'omwana eri kitaawe.
23 Kale oyo nsuubira okumutuma mangu, kyokka bwe ndimala okusba ebifa gye ndi:
24 naye nsuubira mu Mukama waffe nti nange ndijja mangu.
25 Naye nnalaba nga #331;ŋwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;
26 kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nyo, kubanga mwawulira nga yalwala:
27 kubanga okulwala yalwayali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina.
28 Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyo: musanyuke, nange nkendeeze ku makuwala kwange.
29 Kale muwanirizanga mu Mukama waffe essanyu lyonna; era abafaanana oyo mubassengamu ekitiibwa:
30 kubanga yabulako katono afe w'omulimu gwa Kristo, bwe yaigawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.