1 Tonenyanga mukadde, naye omubuuliriranga nga kitaawo abavubuka ng'ab'oluganda:
2 abakazi abakadde nga nnyoko; abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna.
3 Obawenga ekioibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala.
4 Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe: kubange ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.
5 Naye abeera nnamwandu ddala n'alekebwa yekka, asuubira Katonda, n'anyiikiranga okusaba n'okwegayiriranga emisana n'ekiro.
6 Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng'afudde newakubaddi ng'akyali mulamu.
7 Era n'ebyo obalagire, balemenga okubaaki eky'okunenyezebwa.
8 Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe n'okusinga ab'omu nnyumba ye nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza
9 Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga, eyafumbirwa omusajja omu
10 asiimibwa mu bikolwa ebirungi oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobezeranga nnyo buli ki lwa ekirungi.
11 Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala ezi Kristo, nga baagala okufumbiri
12 nga bazza omusango kuba basuula okukkiriza kwabwe okw’olubereberye.
13 Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga ba mbulatambula okubuna amayumba naye tebagayaala bugayaazi, naye balina olugambo n'akajanja nga boogera ebitasaana.
14 Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, ba: genga ennyumba, balemenga oku omulabe ebbanga w'ayima okuma:
15 kubanga waliwo kaakano abaakyuka okugoberera Seta:
16 Omukazi yenna akkiriza bw’banga ne bannamwandu, abo mbenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala.
17 Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okuyigiri:
18 Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti Tosibanga mumwa gn nte ewuula eŋŋaano. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye.
19 Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu.
20 Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga.
21 Nkukuutirira mu maa; ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi.
22 Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu.
23 Tonywanga mazzi gokka, naye onywa nga ne ku mwenge katono olw'olu buto lwo n'olw'okulwalalwala.
24 Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala bibavaako nnyuma.
25 Era bwe zityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa.