Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Firemooni Philemon

Chapter : 1
1 Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe,
2 ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo:
3 ekisa n'emirembe ebiwa eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga gye muli.
4 Nneebaza Katonda wange ennaku zonna, nga nkwogerako mu kusaba kwange,
5 bwe nnawulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna;
6 okussa ekimu okw'okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo.
7 Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw'okwagala kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wabiwummuza, ow'oluganda.
8 Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira ekisaana,
9 naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu:
10 nkwegayirira olw'omwana wange, gwe nnazaalira mu busibe bwange, Onnessimo,
11 ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ggwe nange:
12 gwe nkomyawo gy'oli yennyini, ye gwe mwoyo gwange:
13 nze gwe mbadde njagala okubeera naye gye ndi, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu busibe bw'enjiri:
14 naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala.
15 Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe; nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe.
16 nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe.
17 Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze oyo nga nze.
18 Naye oba nga yakwonoona oba abanjibwa, mbalira nze ekyo;
19 nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate.
20 Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe: owummuze omwoyo gwange mu Kristo.
21 Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng'olikola era okusinga bye njogera.
22 Naye era nate onnongoosereze aw'okusula: kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba.
23 Eyafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza;
24 ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange.
25 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Amiina.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]