Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Okubikkulirwa Revelation

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22
1 Bwe Yabembula akabonero ak'omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa.
2 Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu.
3 Ne malayika omulala n'ajja n'ayimirira ku kyoto, ng'alina ekyotezo ekya zaabu; n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.
4 N'omukka gw'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda.
5 Malayika n'atwala ekyotezo; n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.
6 Ne bamalayika omusanvu abalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa.
7 Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.
8 Malayika ow'okubiri n'afuuwa; ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne lusuulibwa mu nnyanja: n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi;
9 ne bifa ekitundu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja, ebiramu, n'ekitundu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira.
10 Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.
11 N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso: n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso: n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.
12 Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'elutuadu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n’ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye; ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.
13 Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]