1 Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteeka ku kigo, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era bye mba nziramu eby'okwemulugunya kwange.
2 Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro.
3 Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.
4 Laba, emmeeme ye yeegulumizizza, si ngolokofu mu ye: naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.
5 Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, musajja wa malala, era atatuula waka; agaziya okwegomba kwe ng'amagombe, era ali ng'okufa, so tayinza kukkuta, naye n'akuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, ne yeetuumira ebika byonna.
6 Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti Zimusanze oyo ayaza ebyo ebitali bibye! alituusa wa? era eyeebinika emisingo!
7 Tebaliyimuka nga tomanyiridde abo abalikuluma, tebalizuukuka abalikweraliikiriza, naawe n'oba munyago gye bali?
8 Kubanga waayaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.
9 Zimusanze oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukona gw'obubi!
10 Oteeserezza ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe.
11 Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga liyima mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga guyima mu misekese.
12 Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, n'anyweza ekibuga n'obutali butuukirivu!
13 Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okweyooyeseza obutaliimu?
14 Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.
15 Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n'oyongerako n'obutwa bwo, n'okutamiiza n'omutamiiza olyoke otunuulire ensonyi zaabwe!
16 Ojjudde ensonyi awaabanga ekitiibwa: naawe nywa, obeere ng'atali mukomole: ekikompe eky'omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa eri ggwe, n'ensonyi ez'obuwemu ziriba ku kitiibwa kyo.
17 Kubanga ekyejo ekyagirirwa Lebanooni kirikubikkako, n'okuzikirira kw'ensolo ezaabatiisanga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakituulamu.
18 Ekifaananyi ekyole kigasa ki, omukozi waakyo n'okwola n'akyola; ekifaananyi ekisaanuuse n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki, omukozi w'omulimu gwe n'okwesiga n'akyesiga, okukola essanamu ensiru!
19 Zimusanze oyo agamba omuti nti Zuukuka; agamba ejjinja essiru nti Golokoka! Kino kinaayigiriza? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, so tewali mukka n'akamu kokka wakati mu kyo.
20 Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zibunire mu maaso ge.