Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Kaabakuuku Habakkuk

Chapter : 1 2 3
1 Okusaba kwa Kaabakuuku nnabbi, okw'Ekisigiyonosi.
2 Ai Mukama, mpulidde ebigambo byo, n'entya: Ai Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira.
3 Katonda yajja ng'ava ku Temani, Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani (Seera) Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, Ensi n'ejjula ettendo lye.
4 N'okumasamasa kwe kwali ng'omusana; Yalina amayembe nga gava mu mukono gwe: Era omwo mwe mwali okukweka amaanyi ge.
5 Kawumpuli yatambula okumukulembera, Obusaale obw'omuliro ne bufuluma awali ebigere bye.
6 Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'agoba amawanga n'agasalamu: Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga obw'edda.
7 Nalaba eweema za Kusani nga zirabye ennaku: Amagigi ag'ensi ya Midiyaani ne gakankana.
8 Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi?
9 Omutego gwo gwasowolerwa ddala; Ebirayiro bye walayirira ebika byali kigambo kya nkalakkalira. (Seera) Ensi wagyasaamu n'emigga:
10 Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo: Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'eyimusa emikono gyayo waggulu.
11 Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'okutangaala kw'obusaale bwo nga butambula, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.
12 Watambula okuyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, N'owuula amawanga ng'oliko obusungu.
13 Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wafumita omutwe ogw'omu nnyumba y'omubi, Ng'oyerula omusingi okutuuka ne ku nsingo. (Seera)
14 Wafumita n'emiguma gye ye omutwe gw'abalwanyi be: Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaaaya: Okusanyuka kwabwe kulya mwavu kyama:
15 Walinnya ennyanja n'embalaasi zo, Entuumu ey'amazzi ag'amaanyi.
16 Nawulira, olubuto lwange ne lukankana, Emimwa gyange ne gijugumirira eddoboozi eryo; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange: Mpummulire ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirisanga abantu abamutabaala ebibiina.
17 Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, Ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, So nga tewali nte mu biraalo:
18 Era naye ndisanyukira Mukama, Ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange.
19 Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo byange ebigulumivu. Ya Mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]