1 Awo bwe yafuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.
2 Yesu n'amugamba nti Olaba enzimba eno ennene? teririrekebwa wano jjinja eriri ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
3 Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti
4 Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? n'akabonero ki ak'ebyo nga bigenda okutuukirizibwa byonna?
5 Yesu n'asooka okubagamba nti Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga.
6 Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti Nze nzuuyo; era balikyamya bangi.
7 Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo; temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
8 Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obw'akabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
9 Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makunnaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo.
10 Enjiri kigigwanira okumala oku buulirwa amawanga gonna.
11 Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu.
12 Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassanga.
13 Munaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.
14 Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukire ku nsozi;
15 ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye:
16 n'ali mu lusuku taddanga kutwala lugoye lwe.
17 Naye ziribasanga abali embuto; n'abayonsa mu nnaku ezo.
18 Musabe bireme okutuukira mu biro eby'empewo.
19 Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityi kasookedde Katonda atonda ebya tondebwa okutuusa kaakano, so teziriba.
20 So singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandiro kose mubiri gwonna: naye olw'abalonde be yalonda yazisalako ennaku.
21 Mu biro ebyo omuntu bw'aba gambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali eyo; temukkirizanga
22 kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba baliyimuka, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika abalonde.
23 Naye mwekuumi mmwe: laba, mbambuulidde byonna nga tebinnabaawo.
24 Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo,
25 n'emmunyeenye ziriba nga zigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankana.
26 Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa.
27 Awo n'alyoka atum: bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.
28 Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bw'aligejja n'amalagala ne gatojjera mutegeera ng'omwaka guli kumpi
29 era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse; mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi.
30 Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira.
31 Eggulu n'ensi biri ggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
32 Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bama layika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.
33 Mwekuumenga, mutunulenga musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.
34 Ng'omu ntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe n'alagira omuggazi okutunula.
35 Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennvumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya;
36 atera okujja amangu ago n'abasanga nga mwebase.
37 Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.