1 Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperuna wumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.
2 Ne bakuŋŋaana bangi, n'okugya wo ne batagyawo nate newakubadd mu mulyango: n'ababuulira ekigambo.
3 Ne bajja abaaleeta omu lwadde akoozimbye nga bamwetisse bana.
4 Naye bwe baalemwa okumusemberera olw'ekibiina, ne babi kkula waggulu ku nnyumba we yali: ne bawummulawo ekituli ne bamussiza ku kitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
5 Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti Mwana wange, ebibi byo bikuggiddwako.
6 Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde nga balowooza mu mitima gyabwe nti
7 Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Awoola: ani ayinza okuggyako ebibi wabula omu, ye Katonda?
8 Amangu ago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga balowooza bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti Kiki ekibalowoozesa ebyo mu mitima gyammwe?
9 Ekyangu kiruwa, okugamba akoozimbye nti Ebibi byo bikuggiddwako; nantiki okugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, ogende?
10 Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi n'agamba akoozimbye nti
11 Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.
12 N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti.
13 N'avaawo nate n'agenda ku lubalama lw'ennyanja; ebibiina byonna ne bajja w'ali, n'abayigiriza.
14 Awo bwe yali ng'ayita, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka n'ayita naye.
15 Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba y'oyo ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be; kubanga baali bangi, abaagenda naye.
16 Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba ng'alya wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti Alya era anywera wamu n'abawooaa n'abalina ebibi.
17 Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula ibalwadde: sajja kuyita batuukiriru wabula abalina ebibi.
18 Awo abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamugamba nti Kiki bayigirinzwa ba Yokaana n'abayiirizwa b'Abafalisaayo ekibasiibya, bayigirizwa bo nga tebasiiba?
19 Yesu n'abagamba nti Abaana b'obugole bayinza batya akusiiba vasizza omugole ng'ali nabo? mubiro byonna nga bali naye awasizza omugole, tebayinza kusiiba.
20 Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibagaibwala: ne balyoka basiiba ku lunaku olwo.
21 Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bwe kiba kityo kiri eky’oku kizibawo kikutula kiri, ekikadde ekiggya, ekituli ne kyeyongera.
22 Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.
23 Awo olwatuuka yall ng'atambula mu nnimiro ku lunaku lwa ssabbiiti; abayigirizwa be ne batanula okugenda nga banoga ebirimba.
24 Abafalisaayo ne bamugamba nti Laba, kiki ekibakoza eky'omuzizo ku lunaku lwa ssabbiiti?
25 N'abagamba nti Temusomaagaka Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo?
26 Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?
27 N'abagamba nti Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssahbiiti:
28 bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti nayo.