Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Timoseewo 2 Timothy

Chapter : 1 2 3 4
1 Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ng'okusuubiza bwe kuli okw'obulamu obuli mu Kristo Yesu,
2 eri Timoseewo, omwana wange omwagalwa: ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bituuke gy'oli.
3 Nneebaza Katonda gwe mpeereza okuva ku bajjajjange mu mwoyo omulungi, bwe nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n'ekiro
4 nga nkulumirwa okukulaba, bwe njijukira amaziga go, ndyoke njijule essanyu;
5 bwe nnajjukizibwa okukkiriza okutali kwa bukuusa okuli mu ggwe; okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe.
6 Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe olw'okuteekebwako emikono gyange.
7 Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga.
8 Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali;
9 eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo,
10 naye kirabisibwa kaakano olw'okwolesebwa kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa n'amulisa obulamu n'obutazikirira olw'enjiri,
11 gye nnateekerwawo omubuulizi era omutume era omuyigiriza.
12 Era kyenva mbonaabona bwe ntyo: naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli.
13 Nywezanga ekyokulabirako eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu.
14 Ekintu ekirungi kye wateresebwa okikuumenga n'Omwoyo Omutukuvu, abeera muffe.
15 Kino okimanyi nga bonna abali mu Asiya bankuba amabega; ku abo ye Fugero ne Kerumogene.
16 Mukama waffe asaasire ennyumba ya Onesifolo: kubanga yampummuzanga emirundi mingi, so teyakwatirwa nsonyi lujegere lwange,
17 naye bwe yali mu Ruumi n'anyiikira okunnoonya n'okulaba n'andaba
18 (Mukama waffe amuwe okulaba okusaasirwa eri Mukama waffe ku lunaku luli); era n'okuweereza kwonna kwe yaweerezanga mu Efeso, ggwe okutegeera bulungi nnyo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]