Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Timoseewo 2 Timothy

Chapter : 1 2 3 4
1 Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma ebiro eby'okusba ennaku birijja.
2 Kubanga bantu baliba nga beeyagala bokka, baagala ebintu, abeenyumiriza, b'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu,
3 abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, bateegendereza, abakambwe, abaayagala bulungi,
4 ab'enkwe, abaakanyavu, abeegulumiza, abaagala ssanyu okusinga Katonda;
5 nga balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega.
6 Kubanga ku abo be bantu basensera mu nnyumba ne banyaga bakazi abasirusiru abazitoowererwa bibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,
7 abayiga bulijjo, ne batayinza ennaku zonna kutuuka ku kutegeerera ddala mazima.
8 Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; bayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza.
9 Naye tebalyeyongerako kuyitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeeerwa ddala abantu bonna, era ng'owa bali bwe bwali.
10 Naye gwe wagoberera nnyo okuyigiriza wange, empisa zange, okuteesa wange, okukkiriza kwange, okuumiikiriza kwange, okwagala kwage, okulindirira kwange,
11 okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna.
12 Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga.
13 Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balinba era nga balimbibwa.
14 Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi bakuyigiriza bwe bali;
15 era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
16 Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;
17 omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]