1 Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi,
2 obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.
3 Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubeera mu ttima n'obuggya, abeekyayisa, era nga tukyawagana.
4 Naye obulungi bw'Omulokozi waffe Katonda n'okwagala kwe eri abantu bwe byalabika,
5 n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,
6 gwe yatufukako olw'obugagga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe;
7 nga tumaze okuweebwa obutuukirivu olw'ekisa kye oyo, tulyoke tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.
8 Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu:
9 naye empaka ez'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo z'okuzaalibwa n'ennyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu.
10 Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'olubereberye n'ogw'okubiri, omugaananga,
11 ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango.
12 Bwe ntumanga Atema gy'oli oba Tukiko, fuba okujja gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteesezza okumalira eyo ebiro eby'empewo.
13 Fuba okubasibirira Zeena ow'amateeka ne Apolo, baleme okubulwa ekintu.
14 Era abaffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala.
15 Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.