1 Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe;
2 bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez'okutya.
3 Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye;
4 naye omuntu ow'omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omu ngi mu maaso ga Katonda.
5 Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini:
6 nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.
7 Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.
8 Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng'ab'oluganda, ab'ekisa, abawombeefu:
9 abatawalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.
10 Kubanga Ayagala okwegomba obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa:
11 Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi; Anoonyenga emirembe, agigobererenga.
12 Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.
13 Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi?
14 Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa: era temutyanga kutiisa kwabwe, so temweraliikiriranga;
15 naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe; nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya:
16 nga mulina omwoyo omulungi; olw'ebyo bye baboogerako obubi, balyoke bakwatibweaga ensonyi abavuma empisa zammwe ennungi ez'omu Kristo.
17 Kubanga kye kisinga obulungi, Katonda bw'ayagala mu kwagala kwe, mmwe okubonyaabonyezebwa nga mukoIa obulungi okusinga nga mukola obubi.
18 Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;
19 era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera,
20 edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, emazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana:
21 era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
22 ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.