1 Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa:
2 mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, ng: mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo;
3 so si g'abeefuula abaami b'ebyo bye nwateresebwa, naye nga mubeeanga byakulabirako eri ekisibo:
4 Era Omusumba omukulu bw'airabisibwa, muliweebwa engule y'ekitiibwa etewotoka.
5 Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.
6 Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, ayoke abagulumize ng'obudde buuuse;
7 nga mumusindiikiririzaiga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku nwoyo ebigambo byammwe.
8 Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya.
9 oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.
10 Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, libanyweza, alibawa amaanyi.
11 Oyo aweebwenga obuyinza emiembe n'emirembe. Amiina.
12 Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda mwesigwa, nga bwe ndowooza, y'ebigambo ebitono, nga mbabuulrira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu.
13 Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munammwe abalamusizza; ne Makko mwana wange.
14 Mulamusagane n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeerenga nammwe mwenna abali mu Kristo.