1 Awo oluvannyuma lw'ebyo olwatuuka Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'aggya Gaasi n'ebyalo byako mu mukono gw'Abafirisuuti.
2 N'akuba Mowaabu; Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuleeteranga ebirabo.
3 Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba okutuusa e Kamasi, bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati.
4 Dawudi n’amunyagako amagaali lukumi, n'abeebagala embalaasi kasanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n’azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi.
5 Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri.
6 Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7 Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadalezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8 Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo.
9 Awo Toowu kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadalezeri kabaka w'e Zoba,
10 n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amukuba; kubanga Kadalezeri yalwananga ne Toowu; era n'ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo eby'engeri zonna byali naye.
11 Era n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwonga eri Mukama, wamu n'effeeza n'ezaabu bye yanyaga mu mawanga gonna; Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki.
12 Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku Baedomu mu Kiwonvu eky'Omunnyo lukumi mu lunaana.
13 N'ateeka ebigo mu Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi okuwangula buli gye yagendanga yonna.
14 Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; n'atuukiriza emisango n'eby'ensonga eri abantu be bonna:
15 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi Ye yali omujjukiza.
16 Ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Savusa ye yali omuwandiisi;
17 ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu okwetooloola kabaka.