1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nakasi kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2 Dawudi n'ayogera nti Naalaga eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yandaga eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka okumukuba8iza olwa kitaawe: Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza.
3 Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu ekitiibwa kitaawo, n'okutuma n'akutumira abakubagiza? abaddu be tebazze okunoonya n'okumenya n'okuketta ensi?
4 Awo Kanuni n'addira abaddu ba Dawudi n'abamwa, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika.
5 Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja. N'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja nga bakwatiddwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.
6 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga bamutamye Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi okuigulirira amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba.
7 Awo ne bagulirira amagaali obukumi busatu mu enkumi bbiri ne kabaka w’e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana.
8 Awo Dawudi bwe yakiwulira n'agaba Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
9 Awo absana ba Amoni ne batabaala, ne basimbira ennyiriri.awali wankaaki w'ekibuga ne bakabaka abaali bazze baali bokka ku ttale:
10 Awo' Yowaabu bwe yalaba ng'olutalo balusimbye mu maaso ge n'ennyuma we, n'alonda ku basajja bonna aba Isiraeri abalonde, n'abasimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli.
11 N'abantu abalala bonna n'abateresa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, ne basimba ennyiriri okulwana n'abaana ba Amoni.
12 N'ayogera nti Abasuuli bwe banannyinga amaanyi, kale ggwe ononnyamba: naye abaana ba Amooni bwe banaakuyinga amaanyi, kale nze naakuyamba.
13 Guma omwoyo, twerage obusajja olw'abantu baffe, n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole ekyo ky'anaasiima.
14 Awo Yowaabu n'abantu abali naye ne basembera mu maaso g'Abasuuli okulwana; ne badduka mu maaso ge.
15 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo bwe batyo ne badduka mu maaso ga Abisaayi muganda we, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'ajja e Yerusaalemi.
16 Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe.
17 Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye.
18 Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali kasanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi buna, n'atta Sofaki omukulu w'eggye.
19 Awo abaddu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Dawudi, ne bamuweereza; so n'Abasuuli ne batakkiriza kuyamba abaana ba Amoni nate olw'okubiri.