Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

1 Ebyomumirembe 1 Chronicles

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29
1 Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'atabaaza amaanyi ag'eggye, n'azisa ensi y'abaana ba Amoni, n'ajja n'azingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akisuula.
2 Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, n'alaba obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: n'aggyamu omunyago ogw'omu kibuga mungi nnyo.
3 N'aggyamu abantu abaali omwo; n'abasala n'emisumeeno n'amannyo ag'ebyuma n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri n'Abafirisuuti: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu: ne bawangulwa.
5 Ne waba nate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n'atta Lakami muganda wa Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwali ng'omuti ogulukirwako engoye.
6 Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, engalo ze n'obugere bwe amakumi abiri mu buna, buli mukono mukaaga, na buli kigere mukaaga; era naye yazaalirwa erintu eryo.
7 Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'amutta.
8 Abo baazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi, n'omukono gw'abaddu be.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]