1 Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwaliranga mu maaso ge.
2 Kabaka n'aŋŋamba nti Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? kino si kigambo kilala wabula obuyinike obw'omu mutima. Awo ne ndyoka ntya nnyo.
3 Ne ŋŋamba kabaka nti Kakaba abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo aky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?
4 Awo kabaka n'anijamba nti Weegayirira ki? Awo ne nsaba Katonda w'eggulu.
5 Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.
6 Kabaka n'aŋŋamba, (kaddulubaale naye ng'atudde naye,) nti Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? era olidda ddi? Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera.
7 Era nate ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa eri abaamasaza abali emitala w'omugga, bampiseemu ntuuke mu Yuda;
8 n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndiyingira. Kabaka n'ampa olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze.
9 Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi.
10 Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri.
11 Awo ne njija e Yerusaalemi ne mmalayo ennaku ssatu.
12 Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi: so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagala.
13 Ne nvaamu kiro mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro.
14 Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka: naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu.
15 Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo.
16 Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya newakubadde bakabona newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala abaakola omulimu.
17 Awo ne mbagamba nti Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi bwe kizise, n'enzigi zaalryo zookeddwa omuliro: mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume.
18 Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti Tugo lokoke tuzimbe. Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi
19 Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? mwagala okujeemera kabaka?
20 Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.