1 Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango gw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge Falagira Isiraeri.
2 Ezera kabona n’aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne Donna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku alw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu.
3 Awo n'asoma omwo mu maaso g’ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya nu makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abe abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka.
4 Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya ne Sema ne Anaya ne Uliya ne Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono Pedaya ne Misayeri ne Malukiya ne Kasumu ne Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.
5 Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; (kubanga yali waggulu w'abantu bonna;) kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira:
6 Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe: ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.
7 Era Yesuwa ne Baani ne Serebiya ne Yamini ne Akkubu ne Sabbesayi ne Kodiya ne Masseya ne Kerita ne Azaliya ne Yozabadi ne Kanani ne Peraya n'Abaleevi ne bategeeza abantu amateeka: abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.
8 Ne basoma mu kitabo mu mateeka ga Katonda okuwulikika; ne baleeta amakulu n'okutegeera ne bategeera ebyasomebwa.
9 Awo Nekkemiya Tirusaasa ne Ezera kabona omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga. Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka.
10 Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.
11 Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera, nti Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.
12 Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'akunywa n'okuwereeza emigabo n'okusanvuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.
13 Awo ku lunaku olw'okubiri ne wakuŋŋaana emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abantu bonna, bakabona n'Abaleevi, awali Ezera omuwandiisi, okutega amatu eri ebigambo eby'amateeka.
14 Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama bwe yalagirira mu Musa, abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu:
15 bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.
16 Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, bulu muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu.
17 Awo ekibiina kyotma eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira: kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe baryo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.
18 Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olw'olubereberye n'amalira ku lunaku olw'enkomerero n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.