Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Nekkemiya Nehemiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13
1 Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne T'obiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali kituli ekisigadde omwo; (newakubadde nga nali nga sinnasimba nzigi mu miryango mu biro ebyo;)
2 awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono. Naye nga baalowooza okunkola obubi.
3 Ne mbatumira ababaka nga njogera nti Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kuserengeta: omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nserengeta gye muli?
4 Ne bantumira bwe baryo emirundi ena; ne mbaddamu bwe ntyo.
5 Awo Sanubalaati n'antumira omuddu we bw'atyo omulundi ogw'okutaano ng'alina mu mukono gwe ebbaluwa etezingiddwa mu mukono gwe;
6 omwawandiikibwa nti Mu mawanga mulimu ebigambo era Gasimu akyogera nga ggwe n'Abayudaaya mwagala okujeema; kyova ozimba bbugwe: era oyagala okuba kabaka waabwe, ebigambo ebyo bwe byogera bwe bityo.
7 Era otaddewo ne bannabbi ab'okubuulira ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti Mu Yuda mulimu kabaka: kale nno kabaka alibuulirwa ng'ebigambo ebyo bwe biri. Kale mo jjangu tuteese fembi.
8 Awo ne mmutumira nga njogera nti Tewakolebwanga bigambo nga bw'otogera naye obigunze mu mutima nvo ggwe.
9 Kubanga boana banditutiisizza nga boogera nti Emikono gyabwe girifuuka minafu okura ku mulimu guleme okukolebwa. Naye kaakano, ai Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.
10 Awo ne nnyingira mu nnyunba ya Semaaya mutabani wa Deraaya mutabani wa Meketaberi yasibibwa; n'ayogera nti Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda wa yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu: kubanga banajja kukutta; weewaawo, mu kiro mwe anajjira okukutta.
11 Ne njogera nti Omusajja eyenkana awo nga nze nandidduse? era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu yeekaalu kuwonya obulamu bwe? siiyingiemu.
12 Ne ntegeera, era, laba, Katonda teyamutuma: naye yandalulako obunnabbi buno: era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde.
13 Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo bibi, banvume.
14 Ai Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe yali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abanditiisizza.
15 Bwe kityo bbugwe n'aggwa kukola ku lunaku olw'amakumi biri mu ttaano olw'omwezi Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu biri.
16 Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannaggwanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweemu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo: kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe.
17 Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya bbaluwa nnyingi, ebbaluwa za Tobiya ne zijja gye bali.
18 Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abamulayirira kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; ne mutabani we Yekokanani ai awasizza inuwala wa Mesullamu utabani wa Berekiya.
19 Era ne boogera ku bikolwa bye ebirungi mu maaso gange, ne bamubuulira ebigambo byange. Tobiya n'aweereza ebbaluwa okuntiisa.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]