1 Akamere akaluma awamu n'obutereevu Kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba.
2 Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi, Era aliba n'omugabo ogw'obusika mu b'oluganda.
3 Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu: Naye Mukama ye akema emitima.
4 Akola obubi assaayo omwoyo eri emimwa emibi; N'omulimba awulira olulimi olw'ettima.
5 Akudaalira omwavu awoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike taliwona kubonerezebwa.
6 Abaana b'abaana ngule ya bakadde; N'abaana ekitiibwa kyabwe bakitaabwe.
7 Okwogera ebikulu tekusaanira musirusiru: Kale emimwa egirimba gisaanira gitya omulangira?
8 Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g'oyo ali nakyo: Gye kikyukira yonna kiraba omukisa.
9 Abikka ku kusobya anoonya okwagala: Naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab'omukwano ennyo.
10 Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera Okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirisuru.
11 Omuntu omubi anoonya bujeemu bwereere; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.
12 Eddubu enyagiddwako abaana baayo esisinkane n'omuntu, Aleme okusisinkana n'omusirusiru mu busirusiru bwe.
13 Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye.
14 Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.
15 Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama.
16 Kiki ekibeesaawo omuwendo mu mukono gw'omusirusiru okugula amagezi, Nga talina kutegeera?
17 Ow'omukwano ayagala mu biro byonna, Era ow'oluganda yazaalirwa obuyinike.
18 Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngala, N'afuuka omuyima mu maaso ga munne.
19 Ayagala okuyomba ayagala okusobya: Agukumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira.
20 Alina omutima omubambaavu taliiko bulungi bw'alaba: N'oyo alina olulimi olukyamu agwa mu bubi.
21 Azaala omusirusiru yeereetako obuyinike: Era kitaawe w'omusirusiru talina ssanyu.
22 Omutima ogujaguza ddagala ddungi: Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba.
23 Omuntu omubi aggya enguzi mu kifuba, Okukyamya amakubo ag'okusala omusango.
24 Amagezi gaba mu maaso g'oyo alina okutegeera: Naye amaaso g'omusirusiru gaba mu njuyi z'ensi ezikomererayo.
25 Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe, Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala.
26 Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe,
27 Aziyiza ebigambo bye alina okumanya: N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu.
28 Era n'omusirusiru bw'asirika bamuyita wa magezi: Bw'abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu.