Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Engero Proverbs

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31
1 Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga okuba awamu nabo:
2 Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga, N'emimwa gyabwe gyogera ku ttima.
3 Amagezi ge gazimbya ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza:
4 N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.
5 Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya ayoagera obuyinza.
6 Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
7 Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru: Tayasama kamwa ke mu mulyango.
8 Agunja okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima.
9 Okulowooza kw'omusirusiru kwonoona: Era omunyoomi wa muzizo eri abantu.
10 Bw'ozirika ku lunaku olw'okulabirako obuyinike, Amaanyi go nga matono.
11 Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, N'abo abagenda okuttibwa obalekanga.
12 Bw'onooyogeranga nti Laba; tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?
13 Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byazo ebiwoomera amatama go.
14 Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo.
15 Toteegera ku nnyumba ya mutuukiriw, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu:
16 Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula.
17 Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga:
18 Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'akyusa obusungu bwe okumuvaako.
19 Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; So tokwatirwanga buggya ababi:
20 Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettabaaza ey'ababi erizikizibwa.
21 Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: So teweetabulanga n'abo abaagala okujjululajjulula.
22 Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi?
23 Era na bino bigambo bya bagezigezi. Okusosola mu bantu bw'osala emisango si kirungi.
24 Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu; Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga:
25 Naye abo abamunenya be baliba n'essaayu, N'omukisa omulungi gulibatuukako.
26 Addamu eby'ensonga Anywegera emimwa.
27 Teekateekanga omulimu gwo ebweru, Ogwetegekerenga mu nnimiro; Oluvannyuma n'olyoka ozimba ennyumba yo.
28 Tolumirizanga munno awatali asonga: So tolimbanga na mimwa gyo.
29 Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde.
30 Nayita ku nnimiro ey'omugayaavu, N'olusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera;
31 Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa.
32 Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Nalaba ne mpeebwa okuyigirizibwa.
33 Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono, Okufunya engalo okwebaka kutono:
34 Bwe kiryo obwavu bwo bulituuka ng'omunyazi; N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]