1 Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa gy'ayagala yonna.
2 Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama ye apima emitima.
3 Okukola eby'ensonga n'eby'omusango Kukkirizibwa Mukama okusinga ssaddaaka.
4 Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ye ttabaaza ey'ababi, kwe kwonoona.
5 Ebirowoozo eby'omunyiikivu bireeta bungi bwereere Naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.
6 Okufuna obugagga n'olulimi olulimba Mukka ogutwalibwa eruuyi n'eruuyi; ababunoonya banoonya okufa.
7 Ekyejo eky'ababi kiribamalawo; Kubanga bagaana okukola eby'ensonga.
8 Ekkubo ly'oyo eyeebinise omusango likyamakyama nnyo nnyini: Naye omulongoofu omulimu gwe mulungi.
9 Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
10 Emmeeme y'omubi yeegomba obubi: Munne caganja n'akamu mu maaso ge.
11 Omunyoomi bw'abonerezebwa, atalina magezi agafuna: Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa aweebwa okumanya.
12 Omuntu omutuukirivu alowooza ennyumba ey'omubi; Ababi bwe basuulibwa ne babula.
13 Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa.
14 Ekirabo eky'omu kyama kikkakkanya obusungu, N'ekitone eky'omu kifuba kikkakkanya ekiruyi ekingi.
15 Okukolanga eby'ensonga ssanyu lya mutuukirivu. Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.
16 Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu.
17 Ayagala essanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'amafuta taabenga mugagga.
18 Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe adda mu kifo ky'abagolokofu.
19 Beeranga mu nsi ey'eddungu Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
20 Mu nnyumba ey'omutuukirivu mulimu obugagga obw'omuwendo omungi n'amafuta; Naye omusirusiru abumira.
21 Agoberera obutuukirivu n'okusaasira Alaba obulamu n'obutuukirivu n'ekitiibwa.
22 Omuntu ow'amagezi alinnya mu kibuga eky'ab'amaanyi, N'akkakkanya amaanyi ag'obugumu bwakyo.
23 Buli akuuma akamwa ke n'olulimilwe Akuuma emmeeme ye obutalaba nnaku.
24 Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, erinnya lye munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala.
25 Okwegomba okw'omugayaavu kumutta; Kubanga emikono gye gigaana okukola emirimu.
26 Wabaawo ayaayaana ennyo okuzibya obudde: Naye omutuukirivu awa n'atamma.
27 Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Bw'agireeta n'emmeeme embi, tesinga nnyo kuba ya muzizo?
28 Omujulirwa ow'obulimba anaabulanga: Naye omuntu awulira anaayogeranga nga tewali amulimbulula.
29 Omuntu omubi akakanyaza amaaso ge: Naye omugolokofu aliraanya amakubo ge.
30 Tewali magezi newakubadde okutegeera Newakubadde okuteesa ku Mukama.
31 Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo. Naye okuwangula kuva eri Mukama.