Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Oluyimba lwa Sulemaani Song of Songs

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8
1 Ekiro ku kitanda kyange nanoonya omusajja emmeeme yangi gw'eyagala: Namunoonya naye ne ssimu laba.
2 Ne njogera nti Naagolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo ne mu bifo ebigazi, Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala: Namunoonya, naye ne ssimulaba .
3 Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba: Ne mbagamba nti Mulabye oyo emmeeme yange gw'eyagala?
4 Nnali mbayiseeko katono, Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala: Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta, Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange, Ne mu kisenge ky'oyo anzaala.
5 Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
6 Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ez'emikka, Asiigibwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu, N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi?
7 Laba, ke kadyeri ka Sulemaani; Abasajja ab'amaanyi nkaaga bakeetoolodde, Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri.
8 Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana: Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato, Olw'entiisa ekiro.
9 Kabaka Sulemaani yeekolera eggaali Ey'emiti egy'oku Lebanooni.
10 Empagi zaayo yazikola za ffeeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu, Wakati waayo nga waalire n'okwagala, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi.
11 Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mutunuulire kabaka Sulemaani, Ng'alina engule nnyina gy'amutikkiridde ku lunaku kw'afumbiriddwa, Era ku lunaku omutima gwe kwe gusanyukira.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]