Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Oluyimba lwa Sulemaani Song of Songs

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8
1 Muganzi wo agenze wa, Ggwe akia abakazi bonna obulungi? Muganzi wo yeekyusiririzza wa, Tumunoonyeze wamu naawe?
2 Muganzi wange aserengetedde mu nnimiro ye mu misiri egy'emiddo egy'akaloosa, Okuliira mu nnimiro, n'okunoga amalanga.
3 Nze ndi wa muganzi wange, ne muganzi wange wange: Aliisa ekisibo kye mu malanga.
4 Oli mulungi, ai gwe njagala, nga Tiruza, Owooma nga Yerusaalemi, Wa ntiisa ag'eggye eririna ebendera.
5 Nziyaako amaso go, Kubanga gampangudde. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamira ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.
6 Amannyo go,gali ng'eggana ly'endiga enkazi, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.
7 Ekyenyi kyo kiri ng'ekitundu ky'ekkomamawanga Ennyuma w'olugoye lw'obisse ku maaso.
8 Waliwo bakabaka abakazi nkaaga, n'abazaana kinaana, N'abawala abatamanyi musajja abatabalika.
9 Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka; Mwana wa nnyina omu yekka; Mulonde w'omukazi amuzaala. Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa; Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza.
10 Ani oyo atunula ng'emmambya: Omulungi ng'omwezi, Atangalijja ng'enjuba, Ow'entiisa ng'eggye eririna ebendera?
11 N'aserengetera mu nnimiro ey'emmere erimu emiramwa, Okulaba ebisimbe ebibisi eby'omu kiwonvu, Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza.
12 Nga sinnamanya emmeeme yange ne nteeka Mu magaali g'abantu bange ab'ekikungu.
13 Komawo, komawo, ggwe Omusulamu; Komawo, komawo, tukutunuulire. Kiki ekibaagaza okutunuulira Omusulamu, Ng'amazina ga Makanayimu?

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]