Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Oluyimba lwa Sulemaani Song of Songs

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8
1 Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba.
2 Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa: Olubuto lwo ntuumu ya nnaano Eyonjebwa n'amalanga.
3 Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo.
4 Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu: Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko.
5 Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka emibumbo gyazo gimusiba.
6 Ng'oli mulungi, ng'owoomerera, Ai gwe njagala, olw'okusanyusa!
7 Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu.
8 Nayogera nti Naalinya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo: Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa;
9 N'akamwa ko ng'omwenge ogusinga obulungi, Ogumirwa obulungi oyo gwe njagala, nga guseeyeeya, Nga guyita mu mimwa gy'abo abeebase.
10 Nze ndi wa muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze.
11 Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo.
12 Tugende mu.nsuku z'emizabbibu mu makya; Tulabe omuzabbibu oba nga giunulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.
13 Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'e ngeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ai muganzi wange.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]