1 Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukirize abo abazisemberera.
2 Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayoi kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate.
3 Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka bul mwaka.
4 Kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyako ebibi.
5 Ng'ajja mu nsi, kyava ayogera nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omu biri;
6 Tewasiima ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi;
7 Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekya mpandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda
8 Bw'ayogera waggulu nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewaoyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng'amateeka bwe gali),
9 n'alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by'oyagala. Aggyawo eky'oubereberye, alyoke anyweze eky'oubiri.
10 Mu ebyo by'ayagala watukuzibwa olw'okuwaayo omuliri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.
11 Na buli kabona ayinirira buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi ssaddaaa ezitajjulukuka, ezitayinza kugyako bibi emirembe gyonna:
12 naye oyo bwe yamala okuwaayo saddaaka emu olw'ebibi okutuusa mirembe gyonna, n'alyoka atuula mu mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;
13 ng'alindirira oluvannyuna abalabe be okufuusibwa entebe y'ebigere bye.
14 Kubanga olw'ouwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza kutuusa emirembe gyonna abatu uzibwa.
15 Era n'Omwoyo Omuakuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw'amala okwogera nti
16 Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n'alyoka ayogera nti
17 N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.
18 Naye awali okuggibwako ebyo, wakyali kuwangayo ssaddaaka w'ekibi.
19 Kale ab'oluganda, bwe tulina bugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw'omusaayi gwa Yesu,
20 mu kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe;
21 era bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda;
22 tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga mansirwako okuggyamu omwoyo nubi, n'emibiri gyaffe nga ginaabwa n'amazzi amalungi:
23 tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe butasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa:
24 era tulowoozainenga fekka na fekka okukubiringa okwagala n'ebikolwa ebirungi;
25 obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.
26 Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo aate ssaddaaka olw'ebibi,
27 wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe.
28 Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu:
29 mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyeakana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaaao ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa?
30 Kubanga tumumaayi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omu sango abantu be.
31 Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.
32 Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw'ebibonoobono;
33 olulala bwe mwafuuka ekyerolerwa olw'ebivume n'okulaba ennaku; olulala, bwe mwassa ekimu n'abo abaakolerwa ebyo.
34 Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera.
35 Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene.
36 Kubanga mwetaaga okugumiiluriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.
37 Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka, so talirwa.
38 Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: Era bw'addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.
39 Naye ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw'okulokola obulamu.