1 Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu;
2 eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna.
3 Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba ennyumba bw'abeera n'ettendo eringi okusinga ennyumba.
4 Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.
5 Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa;
6 naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero.
7 Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8 Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa, Nga ku lunaku olw'okukemerwa mu ddungu,
9 Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka amakumi ana.
10 Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe: Naye abo tebaategeera makubo gange;
11 Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
12 Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw'okuva ku Katonda omulamu:
13 naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n'obulimba bw'ekibi:
14 kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tunaakwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero:
15 nga bwe kikyayogerwa nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa.
16 Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?
17 Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?
18 Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula obo abataagonda?
19 Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza.