1 Kyekivudde kitugwanira okusinga ennyo okulowooleza ddala ebyawulirwa, kabekasinge tuwaba ne tubivaako.
2 Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ey'ensonga;
3 ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;
4 era Katonda ng'ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by'amagero era ne mu by'amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yayagalanga Yekka.
5 Kubanga bamalayika si be yafuza ensi egenda okubaawo, gye twogerako.
6 Naye waliwo ekifo omu we yategeereza, ng'ayogera nti Omuntu kiki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
7 Wamukola okubulako akatono okuba nga bamalayika; Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, N'omufuza emirimu egy'emikono gyo:
8 Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
9 Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'assibwako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, olw'ekisa kya Katonda alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu.
10 Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono.
11 Kubanga oyo atukuza en, n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda,
12 ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.
13 Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n'abaana Katonda be yampa.
14 Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;
15 era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.
16 Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu.
17 Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi by'abantu.
18 Kubanga olw'okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.