1 Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo kyabikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza; n'ekigambo kyali kya mazima, ze ntalo ennene: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa.
2 Mu nnaku ezo nze Danyeri namala sabbiiti ssatu ennamba nga ndi mu lumbe.
3 Saalyanga ku mmere ennungi, so n'ennyama newakubadde omwenge tebyayingiranga mu kamwa kange, so saasaabanga mafuta, ne mmalira ddala ssabbiiti ssatu ennamba.
4 Ne ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwe: ogw'olubereberye, bwe nnali ku mabbali g'omugga omunene, ye Kiddekeri,
5 ne nnyimusa amaas gange, ne ntunula, era laba, omusajja ayambadde bafuta, nga yeesibye ekiwato kye ne zaabu ennungi eya Ufazi:
6 era n'omubiri gwe gwali nga berulo, n'obwenyi bwe ng'okumyansa bwe kufaanana, n'amaaso ge ng'ettabaaza z'omuliro, n'emikono gye n'ebigere bye bya ng'ekikomo ekizigule ebbala, n'e ddoboozi ly'ebigambo bye ng'eddoboozi ery'ekibiina ekinene.
7 Nange Danyeri nalaba bye nnayolese bwa nze nzekka: kubanga abant abaali nange tebaalaba bye nnayo lesebwa: naye okukankana okunen ne kubagwako, ne badduka okwekweka.
8 Awo nze ne nsigala omu ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye naayolesebwa, so ne mutasigala mi nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundi mu nze, ne ssiba na maanyi nate.
9 Era naye ne mpulira eddoboozi ery'ebigambo bye: era bwe nnawu lira eddoboozi ery'ebigambo bye nali nneebase otulo tungi nga nvuunamye amaaso gange, amaaso ganp nga gatunuulira ettaka.
10 Era laba, omukono ne gankwatako, ne gunfukamiza ku maviivi gange n'ebibatu by'engalo zange.
11 N'annamba nti Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera ebigambo bye nkugamba, weesimbe; kubanga eri ggwe gye ntumiddwa kaakano: era bwe yamala okuŋŋamba ekigambo ekyo, ne nnyimirira nga nkankana.
12 N'alyoka aŋŋamba nti Totya, Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo.
13 Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza ennaku abiri mu lumu: naye, laba, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba: ne mbeera eyo wamu ne bakabaka We Buperusi.
14 Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu naaku ez'enkomerero: kubanga bye wayolesebwa bya nnaku ezikyali ewala nate.
15 Era bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nkutama amaaso gange, ne nsirika.
16 Era, laba, eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma hu mimwa gyange: ne ndyoka njasama akamwa kange, ne njogera, ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso gange nti Ai mukama wange, olw'ebyo bye nnayolesebwa ennaku zange ne zinziramu, nneesiba n'amaanyi nate.
17 Kubanga omuddu wa mukama wange ono ayinza atya okwogera ne mukama wange ono? kubanga nze, amangu ago ne mutasigala mu nze maanyi gonna, so n'omukka gwonna ne gutabeera nate mu nze.
18 Eyali ng'ekifaananyi ky'omuntu n'alyoka ankomako nate, oyo n'ampa amaanyi.
19 N'ayogera nti Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya: emirembe gibeere gy'oli, beera n'amaanyi, weewaawo, beera n'amaanyi. Awo bwe yayogera nange, ne mpeebwa amaanyi, ne njogera nti Mukama wange ayogere: kubanga ompadde amaanyi.
20 N'alyoka ayogera nti Omanyi kyenvudde njija gy'oli? ne kaakano naddayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi : era bwe ndivaayo, laba, omulangira ow'e Buyonaani alijja.
21 Naye naakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima : so siwali ali ku luuyi lwange okulwanyisa abo, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.