Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Danyeri Daniel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12
1 Nange, mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Daliyo Omumeedi, nayimirira okumunyweza n'okumuwa amaanyi.
2 Ne kaakano naakulaga amaaima. Laba, waliyimirira nate bakabaka abasatu mu Buperusi: n'ow'okuna ye alisingira ddala nnyo bonna obugagga: era bw'alifuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani.
3 Ne kabaka ow'amaanyi aliyimirira, alifuga n'obuyinza obungi, era alikola bw'alyagala.
4 Era bw'aliyimirira, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu eri empewo ennya ez'omu ggulu: naye tebuligabirwa zzadde lye, so tebuliba ng'okufuga kwe kwe yafuga: kubanga obwakabaka bwe bulisimbulwa, bulisimbulirwa abalala awali abo.
5 Ne kabaka w'obukiika obwa ddyo aliba n'amaanyi, era omu ku bakulu be: n'oyo aliba n'amaanyi okumusinga, alifuga: okufuga kwe kuliba okufuga okunene.
6 Emyaka bwe girimala okuyitawo balyegatta wamu: n'omuwala wa kabaka w'obukiika obwa ddyo alijja eri kabaka w'obukiika obwa kkono okulagaana: naye omuwala taliba na maanyi ga mukono gwe: so n'oyo taliyimirira, newakubadde omukono gwe: naye omuwala aliweebwayo, n'abo abaamuleeta, n'oyo eyamuzaala, n'oyo eyamuwa amaanyi mu biro ebyo.
7 Naye mu mwana ow'omu bikolo bye muliva omu aliyimirira mu kifo kye, alijja eri eggye, era aliyingira mu kifo kya kabaka w'obukiika obwa kkono, alibalumba, era aliwangula;
8 era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga alibitwala mu Misiri: era alimala emyaka egimu ng'aleka kabaka w'obukiika obwa kkono.
9 Era alijja mu matwale ga kabaka w'obukiika obwa ddyo, naye aliddayo mu nsi ye.
10 N'abaana be balirwana, era bali kunnaanya ekibiina ekinene, eggye eringi, eririyitirira, eriryanjaala, ne libayitamu: era balikomawo, balirwana, okutuuka awali ekigo kye.
11 Ne kabaka w'obukiika obwa ddyo alisunguwala, alivaayo, alirwana naye, kabaka w'obukiika obwa kkono: era aligaba ekibiina ekinene, n'ekibiina kiriweebwayo mu mukono gwe.
12 N'ekibiina kiryegulumiza, n'omutima gwe gulyeyimusa: era alimegga obukumi obungi, naye taliwangula.
13 Ne kabaka w'obukiika obwa kkono alikomawo, era aligaba ekibiina ekisinga eky'olubereberye: era alijja ebiseera bwe biriggwaako, gye myaka, ng'alina eggye eddene n'ebintu ebingi.
14 Ne mu biro ebyo walibaawo abangi abaliyimirira okulwana ne kabaka w'obukiika obwa ddyo: era n'abaana b'abo abalina ettima mu bantu bo balyegolokosa okunyweza ebikwolesebbwa: naye baligwa.
15 Awo kabaka w'obukiika obwa kkono alijja, alikuba olusozi, alirya ekibuga ekiriko ebigo ebingi: n'emikono egy'obukiika obwa ddyo tegiribasobola, newakubadde abantu be abalonde, so tewaliba maanyi gonna okubasobola.
16 Naye oyo ajja okumulumba alikola nga bw'ayagala ye, so tewaliba ayimirira mu maaso ge: era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, ne mu mukono gwe mulibaamu okuzikiriza.
17 Awo alikyusa amaaso ge okujja n'amaanyi ag'obwakabaka bwe bwonna, n'ab'amazima nga bali wamu naye: era alikola by'alyagala: era alimuwa omuwala w'abakazi, okumwonoona: naye taliyimirira, so talimuyamba ye.
18 Oluvannyuma lw'ebyo alikyusa amaaso ge awali ebizinga, aliryako bingi: naye omukulu alikomya ekivume oyo kye yaleeta: era naye alimuddizaayo ekivume kye.
19 N'alyoka akyusa amaaso ge awali ebigo eby'omu nsi ye ye: naye alyesittala, aligwa, so talirabika.
20 Ne walyoka wayimirira mu kifo kye omu aliyisa omusolooza mu kitiibwa eky'obwakabaka: naye mu nnaku si nnyingi alizikirizibwa, si mu busungu, newakubadde mu ntalo.
21 Ne mu kifo kye muliyimirira omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'o kwegonza.
22 Era n'emikono gy'amataba baliggirwawo ddala mu maaso ge, era balimenyeka: weewaawo, era n'omukulu w'endagaano.
23 Era nga bamaze okulagaana naye alikola eby'obukuusa: kubanga alirinnya, era alifuuka ow'amaanyi, ng'alina abantu si bangi.
24 Mu biro eby'emirembe alijjira n'ebifo ebisinga obugimu eby'omu ssaza: era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe: alibagabira omwandu n'omunyago n'obugagga: weewaawo, alisalira enkwe ze ebigo, okumala ekiseera.
25 Era alisasamaza obuyinza bwe n'obuzira bwe okulwanyisa kabaka w'obukiika obwa ddyo n'eggye eringi: ne kabaka w'obukiika obwa ddyo alirwana entalo n'eggye eringi ennyo, ery'amaanyi amangi: naye taliyimirira, kubanga balimusalira enkwe.
26 Weewaawo, abaalya ku mmere ye be balimuzikiriza, n'eggye lye liryanjaala: era bangi abaligwa nga battibwa.
27 Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balyogera eby'obulimba nga batudde ku mmeeza emu: naye tebiriraba mukisa: kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa era.
28 N'alyoka addayo mu nsi ye n'obugagga obungi: n'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye.
29 Mu biro ebyalagirwa aliddayo, aligenda mu bukiika obwa ddyo: naye mu biro eby'oluvannyuma tekiriba nga bwe kyali mu biro eby'olubereberye:
30 Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba: kyaliva anakuwala, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala: aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu.
31 Era emikono giriyimirira ku luuyi lwe, era baligwagwawaza awatukuvu, kye kigo, era baliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna, baliyimiriza eky'omuzizo ekizikiriza.
32 N'abo abalikola obubi nga baleka endagaano alibakyamyakyamya n'okwegonza: naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, balikola eby'obuzira.
33 N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala ri'omuliro, okusibibwa n'okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi.
34 Awo bwe baligwa, balibeerwa n'okubeerwa okutono: naye bangi abalyegatta nabo n'okwegonza.
35 N'abamu ku abo abalina amagezi baligwa okubawoomya, n'okubalongoosa, n'okubatukuza,okutuusa ku kiseera eky'enkomerero: kubange kya kiseera ekyalagirwa ekitannatuuka.
36 Ne kabaka alikola nga bw'alyagala: era alyegulumiza, alyekuza okusinga katonda yenna, era alyogera eby'ekitalo ku Katonda wa bakatonda: era aliraba omukisa okutuusa obusungu lwe bulituukirira: kubanga ebyateesebwa birikolebwa.
37 So talirowooza bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza katonda yenna: kubanga alyekuza okusinga bonna.
38 Naye mu kifo kye aliwa ekitiibwa katonda w'ebigo: era katonda bajjajjaabe gwe bataamanya alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebisanyusa.
39 Era aliyinza ebigo eby'amaanyi amangi katonda omugenyi ng'amuyamba: buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa: era alibawa okufuga bangi, era aligaba ensi olw'omuwendo.
40 Ne mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiika obwa ddyo alimusindika: ne kabaka w'obukiika obwa kkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi: era aliyingira mu matwale alyanjaala, n'agayitamu.
41 Era aliyingira ne mu nsi ey'ekitiibwa, n'amatwale mangi agalisuulibwa: naye bano baliwonyezebwa mu mukono gwe, Edomu, ne Mowaabu, n'abakulu ab'omu baana ba Amoni.
42 Era aligolola omukono gwe ne ku matwale: n'ensi y'e Misiri teriwona.
43 Naye aliyinza ebintu ebitereke ebya zaabu n'ebya ffeeza, n'ebintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri: n'Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera:
44 Naye ebigambo ebiriva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono birimweraliikiriza: era alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n'okumalirawo ddala abangi.
45 Era alisimba eweema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja n'olusozi olw'ekitiibwa olutukuvu: era naye alijja ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]