1 Nebukadduleeza kabaka nze mbawandiikidde abantu bonna, amawanga, n'ennimi, abatuula mu nsi zonna: emirembe gyeyongere gye muli.
2 Ndabye nga kirungi okulaga obubonero n'eby'amagero Katonda Ali waggulu ennyo bye yakola gye ndi.
3 Obubonero bwe nga bukulu! n'eby'amagero bye nga bya maanyi! obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'okufuga kwe kwa mirembe na mirembe.
4 Nze Nebukadduleeza nali mpummulidde mu nnyumba yange, era nga njeerera mu lubiri lwange.
5 Ne ndaba ekirooto ekyantiisa; n'ebyo bye nnalowoolezanga ku kitanda kyange, n'omutwe gwange bye gwayolesebwanga, ne binneeraliikiriza.
6 Kyennava nteeka etteeka okuyingiza gye ndi abagezigezi bonna ab'e Babulooni bantegeeze amakulu g'ekirooto.
7 Awo ne bayingira abasawo, n'abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi: ne njatulira ekirooto mu maaso gaabwe: naye ne batantegeeza makulu gaakyo.
8 Naye oluvannyuma Danyeri n'ayingira gye ndi, erinnya lye Berutesazza, ng'erinnya lya katonda wange bwe liri, era omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu; ne njatulira ekirooto mu maaso ge nti
9 Ggwe Berutesazza, omukulu w'abasawo, kubanga mmanyi ng'omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikweraliikiriza, mbye nnayolesebwa mu kirooto kyange kye ndabye, n'amakulu gaakyo.
10 Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: natunula, era, laba, omuti wakati mu nsi, n'obuwanvu bwagwo bunene.
11 Omuti ne gutula, ne guba gwa maanyi, n'obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n'okulengerwa kwagwo ne kutuuka ku nkomerero y'ensi zonna.
12 Amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo nwalimu emmere emala bonna: ensolo ez'omu nsiko zeggamanga nu kisiikirize kyagwo, n'ennyonyi z'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo, ne byonna ebirina emibiri ne bigulyangako.
13 Nalaba mu ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange, era laba, omutunuzi era omutukuvu n'akka ng'ava mu ggulu.
14 N'ayogerera waggulu, n'agamba bw'ati nti Tenera ddala omuti, ogutemeko amaabi gaagwo, ogukunkumuleko amaagala gaagwo, osaasaanye ebibala byagwo: ensolo zive wansi waagwo, n’ennyonyi ku matabi gaagwo.
15 Era naye ekikonge ky'ekikolo kyawo kireke mu ttaka, nga kiriko kyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo mu muddo ogw'ensi:
16 omutima gwe guwaanyisibwe obutaba gwa muntu, aweebwe omutima gw’ensolo: era ebisera omusanvu bimuyiteko.
17 Omusango ogwo guvudde mu tteeka ry'abatunuzi, n'okuteesa okwo kuudde mu kigambo eky'abatukuvu: balamu balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu wakabaka bw'abantu, era ng'abu,a buli gw'ayagala, era ng'akuza ku wo asinga abantu bonna obunaku.
18 Ekirooto ekyo nze kabaka Nebuadduneeza nakirabye: naawe, gwe Berutesazza, tegeeza amakulu, kubanga abagezigezi bonna ab'omu wakabaka bwange tebayinza kutegeeza makulu: naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.
19 Awo Danyeri, erinnya lye Berutesazza, n'alyoka yeewuunya akaseera, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza. Kabaka n'addamu n'ayogera nti Berutesazza, ekirooto kireme okukweraliikiriza newakubadde amakulu. Berutesazza n'addamu n'agamba nti Mukama wange, ekirooto kibe eri abo abakukyawa, n'amakulu gaakyo eri abalabe bo.
20 Omuti gwe walabye, ogwameze ne guba gwa maanyi, obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n'okulengerwa kwagwo mu nsi zonna:
21 amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo mulimu emmere emala bonna: n'ensolo ez'omu nsiko ne zibeera wansi waagwo, n'ennyonyi ez'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo,
22 ye ggwe, ai kabaka, akuze n'oba wa maanyi: kubanga obukulu bwo bukuze, ne butuuka mu ggulu, n'okufuga kwo ku nkomerero y'ensi zonna.
23 Era kubanga kabaka yalabye omutunuzi era omutukuvu ng'akka ng'ava mu ggulu, era ng'ayogera nti Temera ddala omuti, oguzikirize: era naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kirekere mu ttaka: nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga n'omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo ez'omu nsiko: okutuusa ebiseera omusanvu lwe birimuyitako:
24 amakulu ge gano ai kabaka, era lye tteeka ly'Oyo Ali waggulu ennyo, erijjidde mukama wange kabaka:
25 ng'oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko, era oliriisibwa omuddo ng'ente, era olitoba omusulo ogw'omu ggulu, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
26 Era kubanga balagidde okuleka ekikonge ky'ekikolo ky'omuti: obwakabaka bwo bulinywera gy'oli bw'olimala okutegeera ng'eggulu lye lifuga.
27 Kale, ai kabaka, okuteesa kwange kukkirizibwe mu maaso go, era omalire ddala ebibi byo ng'okola eby'obutuukirivu, n'ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu ng'osaasira abaavu, mpozzi okuwummula kwo kwongerweko.
28 Ebyo byonna byatuuka ku kabaka Nebukadduneeza.
29 Emyezi kkumi n'ebiri bwe gyayitawo, yali atambula mu lubiri w'e Babulooni.
30 Kabaka n'ayogera nti Kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya bakabaka n'amaanyi ag'obuyinza bwange n'olw'ekitiibwa eky'obukulu bwange?
31 Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: obwakabaka bukuvuddeko.
32 Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko: era oliriisibwa omuddo ng'ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
33 Mu ssaawa eyo ekigambo ne kituukiririra Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu, okutuusa enviiri ze lwe zaakula nga ebyoya by'empungu, n'enjala ze nga enjala z'ennyonyi.
34 Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe:
35 n'abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti Okola ki?
36 Mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu: n'olw'ekitiibwa eky'obwakabaka bwange, obukulu bwange n'okumasamasa kwange ne binziramu: n'abakungu bange n'abaami bange ne bannoonya; ne nnywezebwa mu bwakabaka bwange, n'obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako.
37 Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n'amakubo ge ga nsonga: n'abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza.