Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Danyeri Daniel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12
1 Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Daliyo omwana wa Akaswero, ow'ezzadde ery'Abameedi, eyalya obwakabaka obw'Abakaludaaya:
2 mu mwaka ogw'olubereberye mu mirembe gye nze Danyeri ebitabo ne bintegeeza omuwendo gw'emyaka, Yeremiya nnabbi gye yajjirwako ekigambo kya Mukama, okutuukiriza Yerusaalemi okuzika, gye myaka ensanvu.
3 Ne nteeka amaaso gange eri Mukama Katonda, okunoonya nga nsaba era nga nneegayirira, nga nsiiba enjala era nga nnyambala ebibukutu n'evvu.
4 Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula, ne njogera nti Ai Mukama Katonda omukulu era ow'entiisa, atuukiriza endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata amateeka ge:
5 twayonoona, era twakola eby'obubambaavu, n'eby'obubi, era twajeema, nga tukyama okuleka ebiragiro byo n'emisango gyo:
6 so tetwawulira baddu bo bannabbi, abaagambiranga mu linnya lyo bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, n'abantu bonna ab'omu nsi.
7 Ai Mukama, obutuukirivu bwe bubwo, naye ffe amaaso okukwatibwa ensonyi kwe kwaffe, nga leero: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe.
8 Ai Mukama, amaaso okukwatibwa ensonyi kwe kwaffe, bassekabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, kubanga twayonoona ggwe.
9 Mukama Katonda waffe ye alina okusaasira n'okusonyiwa: kubanga twamujeemera:
10 so tetwawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, okutambulira mu mateeka ge, ge yassa mu maaso gaffe abaddu be bannabbi.
11 Weewaawo, Isiraeri yenna asobezza amateeka go, nga beekooloobya, baleme okuwulira eddoboozi lyo: okukolimirwa kyekwava kutufukirwako, n'ekirayiro ekyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Katonda: kubanga twamwonoona.
12 Naye yanyweza ebigambo bye, bye yayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe yatuleetera obubi obunene: kubanga wansi w'eggulu lyonna tekikolebwanga nga bwe kyakolebwa ku Yerusaalemi.
13 Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe buryo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, tuleke ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, era tubeere n'amagezi mu mazima go.
14 Mukama kyeyava atunuulira obubi, n'abutuleetako: kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu bikolwa bye byonna by'akola, naffe tetwawulira ddoboozi lye.
15 Ne kaakano, ai Mukama Katonda waffe, eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono agw'amaanyi, era eyeefunira ekitiibwa, nga leero: twayonoona, twakola bubi.
16 Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bwekooloobye buve ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutakuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola.
17 Kale kaakano, ai Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku bwa Mukama, oyazike amaaso go awa tukuvu wo awazise.
18 Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, otunuulire ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, wabula olw'okusaasiza kwo okungi.
19 Ai Mukama, wulira: ai Mukama, sonyiwa: ai Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ai Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo.
20 Awo bwe nnali njogera, era nga nsaba, era nga njatula okwonoona kwange n'okwonoona kw'abantu bange Isiraeri, era nga ndeeta okwegayirira kwange mu maaso ga Mukama Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange:
21 weewaawo, bwe nnali njogera mu kusaba, omusajja Gabulyeri, gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'ankomako nga mu kiseera ekya ssaddaaka ey'akawungeezi.
22 N'anjigiriza, n'ayogera nange, n'agamba nti Ggwe Danyeri, kaakano nfulumye okukugeziwaza mu kutegeera.
23 Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale lowooza ekigambo ekyo, otegeere bye wayo lesebwa.
24 Sabbiiti ensanvu ziragiddwa abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okutabaganya olw'obutali butuukirivu, n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu.
25 Kale manya otegeerere ddala nga kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo sabbiiti musanvu: era walibaawo sabbiiti nkaaga mu bbiri, n'ekizimbibwa nate, n'oluguudo a'olusalosalo, newakubadde mu biro eby'okutegana.
26 Era sabbiiti nkaaga mu bbiri bwe ziriggwa, oyo afukibbwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu: n'enkomerero ye eriba n'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzisa kwalagirwa.
27 Era aliragaana endagaano ennywevu n'abangi okumala ssabbiiti emu: ne mu kitundu ekya ssabbiiti alikomya ssaddaaka n'ekitone: ne ku kiwaawaatiro eky'eby'emizizo kulijjirako oyo alizisa: n'okutuusa byonna okutuukirizibwa, okwo kwe kwalagirwa, obusungu bulifukibwa ku oyo azisa.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]