1 Ebigambo bya Amosi eyali ow'oku basumba b’e Tekowa, bye yalaba ebya Isiraeri mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng'ekyasigaddeyo emyaka ebiri okutuuka ku kikankano ky'ensi.
2 N'ayogera nti Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, era alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; kale amalundiro ag'abasumba galiwnubaala, n'entikko ya Kalumeeri eriwotoka.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyuma:
4 naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi.
5 Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw'ayogera Mukama.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu:
7 naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Gaza, era gulyokya amayumba gaakyo:
8 era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'a yogera Mukama Katonda.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'oluganda:
10 naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Ttuulo, era gulyokya amayumba gaakyo.
11 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonna:
12 naye ndiweereza omuliro ku Temani, era gulyokya amayumba ag'e Bozula.
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab'e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe:
14 naye ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'akunta ku lunaku olw'embuyaga ez'akazimu:
15 era kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye n'abakungu be wamu, nw'ayogera Mukama.