Home |  | Audio |  | Index |  | Verses


Amosi Amos

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9
1 Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto: n'ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonna; era nditta n'ekitala ow'enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n'omu.
2 Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.
3 Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw'ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma.
4 Era newakubadde nga bagenda mu busibe mu maaso g'abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibatta: era nditeeka amaaso gange ku bo olw'okuleeta obubi so si bulungi.
5 Kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n'esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw'e Misiri;
6 ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olunalu; Mukama lye linnya lye.
7 Mmwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri?
8 Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g'ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama.
9 Kubanga, laba, ndiragira era ndiwewera ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, naye tewaliba na kaweke na kamu akaligwa ku ttaka.
10 Abalina ebibi bonna ab'omu bantu bange balifa n'ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebulitukulembera.
11 Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez'edda;
12 balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw'ayogera Mukama akola kino.
13 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obu sozi bwonna bulisaanuuka.
14 Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.
15 Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]