Home |  | Audio |  | Index |  | Verses


Amosi Amos

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9
1 Zibasanze abo abeegolodde mu Sayuuni n'abo abataliiko kye batya ku lusozi lw’e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga obukulu, abajjirwa ennyumba ya Isiraeri!
2 Muyite mugende e Kalune mulabe; nuveeyo mugende e Kamasi ekizulu: mulyoke muserengete e Gaasi eky'Abafirisuuti: bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba ensalo yaabwe ekira ensalo yammwe obugazi?
3 Mmwe abateeka ewala Aunaku olubi ne musembeza kumpi entebe ey'ekyejo;
4 abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegolorera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'endiga ab'omu kisibo, s'ennyana nga baziggya mu kisibo;
5 abayimbira ennyimba ezitaliimu ru ddoboozi ery'ennanga; abeegunjira ebintu ebivuga nga Dawudi;
6 abanywera omwenge mu bibya, ne basaaba amafuta agasinga obulungi; naye tebanakuwalidde kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu.
7 Kale kyebaliva bagenda mu busibe wamu n'abo abaasooka okugenda mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo.
8 Mukama Katonda yeerayidde yekka, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye, nti Nkyawa obulungi bwa Yakobo, ne ntamvda amayumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonna ebikirimu.
9 Awo olulituuka abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu balifa.
10 Era omuntu bw'anaasitulibwa kojjaawe, oyo amwokya, okuggya amagumba mu nnyumba, n'agamba oyo ali mu njuya. ez'ennyumba ez'omunda nti Wakyaliwo ali naawe? naye n'addamu nti Nedda; kale a'alyoka ayogera nti Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.
11 Kubanga, laba, Mukama alagidde, n'ennyumba ennene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika.
12 Embalaasi ziriddukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? mmwe okufuula ne mufuula omusango okuba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okuba abusinso:
13 mmwe abasanyukira ekintu ekitaliiko kye kigasa, aboogera nti Tetwefunidde mayembe olw'amaanyi gaffe ffe?
14 Kubanga, laba, ndibayimusizaako eggwanga, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]