1 Muwulire ekigambo kino Mukama ky'afoogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonna kye nnalinnyisa nga nkiggya mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti
2 Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi zonna: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna.
3 Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye?
4 Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? empologoma ento eyima mu mpuku yaayo okulira nga teriiko ky'ekutte?
5 Ennyonyi eyinza okugwa mu mutego ku nsi nga tebagiteze kakunizo? omutego gumasuka okuva wansi nga teguliiko kye gukwasizza?
6 Bafuuyira ekkondeere mu kibuga, abantu ne batatya? obubi bugwa ku kibuga, Mukama nga tabuleese?
7 Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.
8 Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ayinza obutalagula?
9 Mulangirire mu mayumba mu Asudodi ne mu mayumba mu nsi y'e Misiri, mwogere nti Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe enjoogaano eziri omwo bwe zenkana obungi, n'okujooga bwe kuli okuli omwo wakati.
10 Kubanga tebamanyi kukola bya nsonga, bw'ayogera Mukama, abo abatereka ekyejo n'obunyazi mu mayumba gaabwe.
11 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Walibaawo omulabe, okwetooloola ensi enjuyi zonna: naye alikkakkanya amaanyi go okukuvaako, n'amayumba go galinyagibwa.
12 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omusumba bw'awonyaako mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu; bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baliwonyezebwa, abatuula mu Samaliya mu nsonda y'ekiriri ne ku bigugu ebya aliiri eby'oku kitanda:
13 Muwulire mube abajulirwa eri ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye.
14 Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndibonereza n'ebyoto bya Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalihwako ne gagwa wansi.
15 Era ndikuba ennyumba eya ttoggo wamu n'ennyumba ey'ekyeya; n'ennyumba ez'amasanga ziribula, n'amayumba amanene galikoma, bw'ayogera Mukama.