1 Ekigambo kya Mukama ekyaja eri Mikka, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, kye yalaba ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.
2 Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n'ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng'ayima mu yeekaalu ye entukuvu.
3 Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.
4 N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga.
5 Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi?
6 Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ng'ebizabbibu ebisimbe; nange ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo.
7 Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n'empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.
8 Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng'ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya.
9 Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.
10 Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba ama ziga n'akatono: ku Besuleyafula nneekulukuunyizza mu nfuufu.
11 Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo.
12 Kubanga oyo abeera mu Malosi yeeraliikirira ng'alindirira ebirungi; kubanga akabi kasse, kavudde eri Mukama ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi.
13 Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe.
14 Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky'okusiibula; ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri.
15 Nkyagenda okuleeta gy'oli, ggwe abeera mu Malesa, oyo aliba nnannyini ggwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu.
16 Weemwe osalire enviiri abaana abakusanyusa; gaziya ekiwalaata kyo ng'empungu; kubanga bakuggiddwako bagenze mu kusibibwa.