1 Zinsanze! kubanga nfaanana nga lwe bamala okulonda emmere yonna ennungi, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku; tewakyali kirimba eky'okulya; emmeeme yange yeegomba ettiini esooka okwengera.
2 Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu: bonna bateega okuyiwa omusaayi, bayigga buli muntu muganda we n'ekitimba.
3 Engalo zaabwe zikwata ku by'obubi okunyiikira okubikola; omulangira asaba, omulamuzi ayagala okuweebwa empeera; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu mmeeme ye: bwe batyo bwe babirukira awamu.
4 Oyo ku abo asinga obulungi afaanana ng'omweramannyo, omugolokofu ku abo asinga obubi olukomera lw'amaggwa: olunaku olw'abakuumi bo, lwe lw'okulabwako, lutuuse: kaakano we wanaaba okweraliikirira kwabwe.
5 Temwesiga wa mukwano, temulowoozanga mukulembeze nga mwesigwa; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo.
6 Kubanga omwana tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; ab'omu nju be baba abalabe b'omuntu.
7 Naye ku bwange naatunuuliranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anampuliranga.
8 Tonsanyukirako, omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.
9 Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango: alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.
10 Kale omulabe wange alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyantlamba nti Mukama Katonda wo ali ludda wa? Amaaso gange galimulabako; kaakano alirinnyirirwa ng'ebitosi eby'omu nguudo.
11 Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! ku lunaku luli ekiragiro kiritwalibwa ewala.
12 Ku lunaku luli baliva mu Bwasuli ne mu bibuga bya Misiri balituuka gy'oli, era baliva mu Misiri okutuuka ne ku Mugga, n'okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.
13 Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo ababeera omwo, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe.
14 Liisa abantu bo n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri: baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda.
15 Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo.
16 Amawanga galiraba, galikwatirwa ensonyi amaanyi gaabwe gonna; baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, amatu gaabwe galiziba.
17 Balikomba ku nfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva nga bakankana mu bwekwekero bwabwe: balijja eri Mukama Katonda waffe nga batekemuka era balitya ku lulwo.
18 Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okusaasira.
19 Alikyuka alirusaasira; alisamba okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw'ennyanja.
20 Olikolera Yakobo amazima, olikolera Ibulayimu ekisa, bye walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.