1 Ne njogera nti Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri; si kwammwe okumanya omusango?
2 abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; ababaggyako eddiba lyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe;
3 era abalya, omubiri gw'abantu bange; ne bababaagako eddiba lyabwe n'amagumba gaabwe bagamenya; weewaawo, babatiimatiima ng'ebigenda mu kibya, era ng'e nnyama ey'omu ntamu.
4 Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tebaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola obubi mu bikolwa byabwe.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bannabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amannyo gaabwe, era bayogerera waggulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu bumwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; nti
6 Kyekiriva kibeera ekiro gye muli, muleme okwolesebwa; era ekizikiza kiriba gye muli, muleme okulagula; era enjuba erigwira bannabbi, era obudde buliddugala ku bo.
7 N'abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali. kuddamu kwa Katonda.
8 Naye mazima nze njijudde amaanyi olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, mbuulire Yakobo okwonoona kwe era mbuulire Isiraeri ebibi bye:
9 Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga zonna.
10 Bazimba Sayuuni n'omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n'obukyamu.
11 Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? akabi tekalitutuukako.
12 Sayuuai kyeruliva lulimibwa ng'omutala ku bwammwe, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n'olusozi olw'ennyumba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.