Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Mikka Micah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7
1 Naye mu nnaku ez'oluvannyuma oluliruuka olusozi olw'ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu.
2 Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby'enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.
4 Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w'eggye ke kakyogedde.
5 Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
6 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikujnaanya omukazi awenyera, era ndireeta oyo agobebwa n'oyo gwe nnalabisa ennaku;
7 era ndifuula oyo eyawenyera ekitundu ekyasigalawo n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna,
8 Era naawe, ggwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; weewaawo; okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi.
9 Lwaki nno okukaaba ennyo? tewali kabaka gy'oli, omuteesa wo abula? obubalagaze ne bukukwata nga omukazi alumwa okuzaala.
10 Lumibwa, sindika, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alukiwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'orokokera; eyo Mukama gy'aliununulira mu mukono gw'abalabe bo.
11 Ne kaakano amawanga magi agakuŋŋaana okulwana naawe, googera nti Ayonooneke, era amaaso affe gatunuulire ebyo bye gaagala ga bituuse ku Sayuuni.
12 Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga bakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'e ttaano ku gguuliro lye.
13 Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe yo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaameya amawanga mangi; era oliwonga magoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]