1 Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.
2 Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga.
3 Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru.
4 Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi.
5 Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.
6 Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba.
7 Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga.
8 Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira.
9 Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro.
10 Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi.
11 Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
12 Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.
13 Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo.
14 Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera
15 nga Kitange bw'antegeera, nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga.
16 Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu.
17 Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate.
18 Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.
19 Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.
20 Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?
21 Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?
22 Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo;
23 Yesu n'atambulira mu yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani.
24 Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulitire ddala.
25 Yesu n'abaddamu nti Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze.
26 Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27 Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera;
28 nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.
29 Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange.
30 Nze ne Kitange tuli omu.
31 Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba.
32 Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?
33 Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuwoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.
34 Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda?
35 Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba),
36 mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yaiukuza, n'amutuma mu nsi, nti Owodde; kubanga ambye nti Ndi Mwana wa Katonda?
37 Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza.
38 Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.
39 Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe.
40 N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo.
41 Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima.
42 Ne bamukkiririza eyo bangi.