1 Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana,
2 (naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula. abayigirizwa be),
3 n'ava mu Buyudaaya, n'agenda e Ggaliraaya nate.
4 Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya.
5 Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya, kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu:
6 era mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga.
7 Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi: Yesu n'amugamba nti Mpa nnywe.
8 Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9 Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.)
10 Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.
11 Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu?
12 Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyaaywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?
13 Yesu n'addamu n'amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate:
14 naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
15 Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme oktmnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga.
16 Yesu n'amugamba nti Genda oyite balo, okomewo wano.
17 Omukazi n'addamu n'amugamba nti Sirina baze. Yesu n'amugamba nti Oyogedde bulungi nti Sirina baze;
18 kubanga walina babalo bataano, naye gw'olina kaakano si balo: ekyo ky'oyogedde mazima.
19 Omukazi n'amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi.
20 Bajjajjaffe liaasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.
21 Yesu n'amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.
22 Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obttlokozi buva mu Buyudaaya.
23 Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
24 Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.
25 Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.
26 Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe.
27 Amaugu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi : naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye?
28 Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abautu nti
29 Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo?
30 Ne bava mu kibuga, ne bajja gy'ali.
31 Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti Labbi, lya.
32 Naye n'abagamba nti Nnina ekyokulya kye ndya kye mutamanyi.
33 Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?
34 Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange, kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
35 Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze oku tukula okukungulibwa.
36 Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu.
37 Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti Asiga mulala, n'akungula mulala.
38 Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera: abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.
39 Ab'omu kibuga omwo Abssamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna.
40 Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo: n'asulayo ennaku bbiri.
41 Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye,
42 ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.
43 Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya.
44 Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.
45 Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga: kubanga nabo baagenda ku mbaga.
46 Awo n'ajja nate ku Kaana eky'e Ggaliraaya, mwe yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.
47 Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.
48 Awo Yesu n'amugamba nti Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.
49 Omukungu n'amugamba nti Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.
50 Yesu n'amugamba nti Genda; omwana wo mulamu. Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
51 Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti omwana we mulamu.
52 Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.
53 Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti Omwana wo mulamu: ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.
54 Kano ke kabonero ak'okubiri nate Yesu ke yakola bwe yava e Buyudaaya okujja e Ggaliraaya.