1 Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;
2 Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde.
3 Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde.
4 Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.
5 Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo.
6 Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu.
7 Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya. Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
8 Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
9 Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuutu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno.
10 Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.
11 Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba ati Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.
12 Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.
13 Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo.
14 Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde.
15 Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali.
16 Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba lxayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye.
17 Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18 Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano;
19 Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwamwannyinaabwe.
20 Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju.
21 Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
22 Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.
23 Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira.
24 Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.
25 Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
26 Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
27 N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.
28 Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita.
29 Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali.
30 Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusa ngamu.
31 Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo.
32 Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
33 Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira,
34 n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe.
35 Yesu n'akaaba amaziga.
36 Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala.
37 Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?
38 Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu.
39 Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.
40 Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?
41 Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.
42 Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.
43 Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje.
44 Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende.
45 Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza.
46 Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze.
47 Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi.
48 Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe.
49 Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi,
50 so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula.
51 Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yeus agenda okufiirira eggwanga eryo;
52 so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana.
53 Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
54 Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa.
55 Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose.
56 Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?
57 Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate.